Song of Solomon 6

Abemikwano

1 aMuganzi wo alaze wa,
ggwe akira abakyala bonna obulungi?
Muganzi wo yakutte lya wa
tumukunoonyezeeko?
Omwagalwa

2 bMuganzi wange aserengese mu nnimiro ye,
mu misiri egy’ebirime ebyakaloosa,
okulabirira ennimiro ye
n’okunoga amalanga.
3 cMuganzi wange, wange, nange ndi wuwe;
anoonyeza mu malanga.
Owoomukwano

4 dOli mubalagavu nga Tiruza,
Tiruza kyali kibuga kya dda mu Kanani ekyalondebwa Yerobowaamu mu 930-909 bc okuba ekibuga ekikulu eky’Obwakabaka bw’omu Bukiikakkono

omwagalwa wange, omulungi nga Yerusaalemi,
era ow’ekitiibwa ng’eggye eririna ebendera.
5 fTontunuulira nnyo
kubanga amaaso go gantawanya.
Enviiri zo ziri ng’ekisibo eky’embuzi,
eziserengeta okuva e Gireyaadi.
6 gAmannyo go gali ng’ekisibo eky’endiga
eziva okunaazibwa;
buli emu nnongo eri n’ennongo ginnaayo,
so tewali eri yokka.
7 hObwenyi bwo bw’obisse mu lugoye,
buli ng’ebitundu by’amakomamawanga.
8 iNe bwe walibeerawo bakabaka abakazi nkaaga,
n’abazaana kinaana,
n’abawala embeerera abatamanyiddwa muwendo,
9 jejjiba lyange, owange ataliiko bbala, ow’enjawulo,
mwana muwala eyazaalibwa yekka, ayagalibwa ennyo nnyina
okusinga abalala, y’ansingira mu bonna.
Abawala baamulaba ne bamuyita wa mukisa;
bakabaka abakazi n’abazaana baamutenda.
Abemikwano

10Ani ono alabika ng’emmambya,
omulungi ng’omwezi, atangalijja ng’enjuba,
alina ekitiibwa ng’eky’emunnyeenye?
Owoomukwano

11 kNaserengeta mu nnimiro ey’emiti egy’ensigo okwetegereza
okumulisa okw’ebimera eby’omu kiwonvu,
okulaba omuzabbibu obanga gwamulisa,
n’okulaba emikomamawanga oba nga gyamera.
12Bwe nnali nkyali awo
emmeeme yange n’egenda eri amagaali ag’obwakabaka ag’omu bantu bange.
Abemikwano

13 lKomawo, Komawo, ggwe Omusulamu;
komawo, komawo tukutunuleko.
Owoomukwano

Lwaki mutunuulira Omusulamu
ng’abali ku mazina ga Makanayimu?
Copyright information for LugEEEE